Abasuubuzi batutte KCCA ne NEMA mu kkooti ku by’okuzimba ku mwala

Olive Nabiryo
1 Min Read

Waliwo ekibinja ky’abasuubuzi mu Kampala ekitutte ekitongole ki KCCA ne NEMA mu mbuga z’amateeka nga babalanga kulaga bulagajjavu obwaviirako amazzi okwanjaala mu bizimbe mwe bakolera ne bafiirwa buwanana. 

Bano nga bayita mu bannamateeka baabwe bagamba nti ebitongole bino byalaga obunafu ne bikkiriza omusuubuzi Hamis Kigundu okuzimba ku mwala gwe Nakivubo awatali kusooka kwetegereza, okukakkana nga kino kiremesezza amazzi okwetaaya nga enkuba etonnye, ne gaggwera mu maduuka gaabwe.

Kooti enkulu gyebaddukidde tennawa lunaku kwegenda kukola ku nsonga zaabwe.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *