Eby’enjigiriza mu nkambi y’ababundabunda kyekimu ku bitandise okwerariikiriiza ab’obuyinza,nga kino kiddiride ensimbi z’abavujjiriza okutandika okwesala naddala mu nkambi emanyiddwa nga Bidibidi. Tukitegedde nti abasomesa mu masomero agali nkambi eno batandise okukendeera kubanga bangi ku basomesa abali mu masomero gano baali bavujjirirwa bitongole binakyewa.