Olwaleero, ekitongole kya Kampala Capital City Authority kifulumizza alipoota ku bubenje obuzze bubaawo mu Kampala mu mwaka gwa 2024 nga eraga nti obubenje bwakendeera naye ate abantu abaabufunamu obuvune obw’amaanyi ne beeyongera nga obuzibu buva ku kuvuga ndiima.Mmeeya wa Kampala Erias Lukwago ategeezezza nti obubenje bwandibadde bukendeera naye kaweefube w’okubulwanyisa akotoggerwa abo abaagala okumulyamu obuli ensimbi era kino akyesigamizza ku nteekateeka eyayimirizibwa eya Kamera z’okunguudu ezaali zikuba abavuga endiima ebipapula.