Okuyuza ebipande: Omulabirizi Kisembo avumiridde ebikolwa by’abapoliisi abamu

Olive Nabiryo
0 Min Read

Omulabirizi w’obulabirizi bwa Ruwenzori Reuben Kisembo, asabye abeeby’okwerinda okuba abeegendereza ng’eggwanga lyolekera akalulu ka 2026. 

Ng’ajuliza obutambi obwalaze abapoliisi nga bayuza ebifaananyi bya Robert Kyagulanyi avuganya ku bwa Pulezidenti, Kisembo agamba nti ab’eby’okwerina tebasaanye kulaga kyekubiira wabula bagoberere amateeka nga bakola egyabwe. 

Kisembo okwogera bino abadde aggulawo ekizimbe ekilabilira abakadde n’abaana abataliiko mwasirizi mu kibuga Fort Portal.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *