Ababaka ba palamenti bakaanyiza awatali kwetemamu okuteeka gavumenti ku ninga eteeke ensimbi ezimala mu malwaliro gonna mu ggwanga., kitaase abantu abafa olw’obujanjabi obutamala.Ababaka bagamba nti gavumenti erina okukomya okwewola ensimbi okuduukirira amalwaliro amalondemu, kyoka nga kyenkana gonna gali mu mbeera mbi.Bano okutaama kiddiridde gavumenti okwewola obuwumbi bw’ensimbi za Uganda nsanvu edaabirize eddwaliro lye Bujiri.