Entiisa ebuutikidde abatuuze b’okyalo Kikenene ekisangibwa mu ggombolola y’e Kisekka mu district y’e Lwengo, mutuuze munaabwe bwatiddwa abantu abatanategeerekeka mubukambwe oluvanyuma nebaleeta emotoka nebatikka emwaanyi zze nebakuliita nazo.Tukitegedde nti abantu be abaasangiddwa ewaka baaliggiddwa ku miguwa olwo ye George Bifaaki mu kugezaako okwanganga abalumbaganyi, baamukakkanyeko nebamutungumbula.Katufune ebisingawo.