Poliisi ekakkasizza nga bw’ekutte abantu babiri ku byekuusa ku ttemu ery’abaddewo olunaku lw’eggulo mu bitundu bye Ntinda mu kampala, omukuumi wa kampuni ey’obwannanyini bweyavudde mu mbeera n’akuba Mukama we essasi eryamutiddewo.Tukitegedde nti omukuumi ono Hillary Byaruhanga agambibwa okuba nti yeeyatemudde nga yasangiddwa mu ggombolola ye Kihihi mu district y’e Kanungu.Omwoyo gw’omugenzi olwaleero bagusabidde ku kkanisa ya Jubilee Christina Life Church e Kireka.