Eby’okunoonyereza ku by’omwala, Sipiika Among abikwasizza ababaka bataano, COSASE ebivuddeko

Gladys Namyalo
1 Min Read

Akakiiko akalondoola emiriimu gy’ebitongole bya gavumenti kaggye enta mu byokunoonyereza ku by’omusuubuzi Hamisi Kiggundu okuzimba ku mwala gw’e Nakivubo .Kino kiddiridde Sipiika wa Palamenti Anita Among ekufulumya ekiragiro nti obuvunaanyizibwa bw’okunoonyereza ku nsonga eno abukwasizza ‘abababaka bataano abatuula ku kakiiko ka palamenti akalondoola eby’okuzimba ka Physical Infrastructure Committee .Kyokka ababaka abatuula ku kakiiko ka COSASE basigadde bakukkuluma olw’ekikoleddwa Sipiika nga bagamba nti tagoberedde mateeka so ng’era n’akakiiko k’alonze kaliko ba kibiina ekiri mu byinza bokka.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *