Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago yeeweze okufafaagana n’omuntu yenna anagezaako okuwa omuggaga Hamis Kiggundu ekyaanya okugenda mu maaso n’enteekateeka z’okuzimba ku mwala gwe Nakivubo, kyagamba nti kikosa obutonde bw’ensi. Lukwago agamba kya nnaku nnyo nti bangi ku bannyuganda na ddala abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bwensi basirise nga kyoka omwaala gutwalibwa.