Waliwo okunonyereza okukoleddwa nekiziilwa ng’ensangi zino omuwendo gw’abakyala abalwala kookolo w’amawuggwe gweyongedde okukira ku gw’abasajja.Aba Makerere Lung Institute ba gamba nti kizuuse nga abakyala abalwala kookolo kati bakola ebitundu nkaaga ku buli kikumi, ekyongedde obwerariikirivu.Bagamba nti omutawaana guvudde ku muzze ogw’okufuuweta taaba ogweyongedde ennyo mu bakyala, nga kuno kwogasse n’omukka ogubayingira nga bafumba.