Kitegeerekese nti gavumenti emaze okufulumya obukadde bwa Euro 75 nga muzakuno bwe buwumbi bisatu n’ezigwamu okutandika ku mulimu gw’okuzimba oluguudo lwa Train y’amasannyalaze okuva e Malaba okutuuka wano mu Kampala. Abakwanaganya puloojekiti eno wano mu ggwanga beeyamye okulaba ng’ebitundu 40 ku buli 100 eby’emirimu egigenda okukolebwa giweebwe bannayuganda. Pulojekiti eno yatandikibwa dda mu mawanga okuli Kenya ne Tanzania wabula nga Uganda ebadde tennagutandikako olw’ebbula ly’ensimbi n’ensonga endala.