Kkooti enkulu e Masaka ekalize omusajja ekibonerezo kya myaka 12 nga emulanga kukuma muliro n’ayokya muwalawe lwa kubba nusu enkumi taano.David Ssembatya yeyayokya muwalawe Faith Namwanje owemyaka 15,nga ono yasooka ku musiba ku muti nalengejja wansi naakumawo enkoomi y’omuliro.Kyokka aboluganda tebamatidde na kibonerezo kiweereddwa Ssembatya.