Aduumira Poliisi mu Ggwanga Abas Byakagaba aliko enkyukakyuka z’akoze mu poliisi nga mu zino waliwo abantu aweereddwa obuvunaanyizibwa obwenjawulo so ngabalala bakyusiddwa ebifo. Mu bano mwe muli n’aboogezi ba poliisi. Patrick Onyango abadde omwogezi wa Poliisi mu Kampala aggyiddwa ku buvunaanyizibwa buno nazzibwayo ku kitebe kya Poliisi e Naguru. Lameck Kigozi ye asindikiddwa mu bitundu Wamala ng’omwogezi wa Poliisi. So ngabaddeyo Rachel Kawala kati yagenda okwogerera Poliisi mu Kampala okudda mu kifo kya Onyango. Kawala ayogeddeko naffe ku buvunaanyizibwa buno.
ENKYUKAKYUKA MU POLIISI: Kawala kati yayogerera poliisi mu Kampala, Onyango azze ku kitebe
1 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
