Emikono emijingirire: Kabanda atutte Muhumuza mu kakiiko k’eby’okulonda 


Olive Nabiryo
0 Min Read

E Kasambya mu disitulikiti ye Mubende omu ku beegwanyiza okukiikirira ekitundu kino Henry Muhumuza atwaliddwa mu kakiiko ke byokulonda nga alumirizibwa okweyambisa emikono emijingirire okumusemba ng’asunsulwa.

Gwavuganya naye David Kabanda y’amulumiriza okukozesa olukujjukujju okusunsulwa, kyoka singa Muhumuza ajjibwa mu lwokaano, Kabanda aba ayiseewo nga tavuganyiziddwa.

Akakiiko ke byokulonda tekanawa nsala ya nkomeredde ku nsonga eno.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *