Robert Kyagulanyi olwaleero atandise okukuyega ab’omu West Nile nga asookedde Packwach eyo gy’asuubizza abatuuze nga bw’agenda okuzzaawo entambula y’eggaali y’omukka ate nga ya mulembe, olwo kibasobozese okutambulanga mu budde okutuuka e Kampala.
Kyagulanyi yewuunyizza okuba nti ekintu ekyandibadde kikuze mu by’obusuubuzi kikyali mabega nnyo bw’ekiti, so nga eky’okukola ye akimanyi naye nga abulako buyinza bwokka.
