Ssaabiminisita Robinah Nabbanja ayambalidde abakulembeze mu district ye Wakiso abali ku ludda oluvuganya olw’okuvumirira enkola za gavumenti nti tezituuka ku bantu, kyoka nga gavumenti eriko ebintu bingi byekoze mu Wakiso.Ku bino ono anokoddeyo okutumbula eby’obulamu, ebyenjigiriza saako n’okuba nti Wakiso yeesinze okufuna ssente za PDM nga bano baakafuna obuwumbi obusukka mu 31.Bino Nabbanja abyogedde bw’abadde ayogerako eri ab’amawulire ku bintu gavumenti by’ekoze mu kitundu ky’e Wakiso.