Mu 2018, gavumenti yasasaanya obuwumbi obusukka mu 30 okuteerawo abantu ekyuma ekinyogoza ebirime eby’enonooneka amangu mu gombolola ye Rwengaju mu district ye Kabalore, kyokka nga n’okutuusa kati ekyuma kino tekikolangako. Tukitegedde nti omutawaana gwava ku bbula lya ssente ezigula amafuta agaalina okuddukanya generator zino. Nga ogyeko wano, ekyuma bbo baakipangisa musiga nsimbi nga ensimbi z’amafuta ga generator zibaweddeko.