Eyaliko Kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira Uganda Cranes, Dennis Masinde Onnyango asabye abawagizi obutaggwamu ssuubi kubanga Uganda Cranes ekyalina omukisa okukiika mu mpaka z’ekikopo ky’e nsi yonna, FIFA World Cup ezigenda okuyindira mu mawanga okuli Mexico, Canada ne America. Onyango y’omukubazannyi ababadde mu nkambi ya Uganda Cranes eyamezze Mozambique ne Somalia.