Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda Cranes olunaku lwenkya yakuttunka ne Somalia mu luzannya lwabwe olw’okubiri mu kibinja G mu mpaka z’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka ez’ekikopo ky’ensi yonna ziyite World Cup qualifier.Omupiira guno gwakuyindira ku kisaawe kya Mandela Stadium e Namboole ssaawa emu ey’akawungeezi . Uganda ejja mu mupiira guno n’obuwanguzi bweyafunye ku Mozambique, gye yakuba ggoolo 4 ku bwereere mu mpaka ze zimu.Kapiteeni wa ttiimu eno Khalid Aucho ng’ali wamu n’omutendesi Paul Put baliko bye batubuulidde.