LIIGI YA YUNIVAASITE: ISBAT eyanjudde abazannyi 20 abanaazannya ega sizoni

Gladys Namyalo
1 Min Read

Liigi y’omupiira mu matendekera agawaggulu emanyiddwa ennyo nga University Football League y’akugyibwako akawuuwo ku Lwokuna lwa wiiki eno nga ttiimu okuva mu university ezenjawulo zittunka mu bibinja eby’enjawulo. Aba ISBAT University beebamu ku bagenda okusookawo nga baakuttunka nè Kyambogo mu mupiira ogugenda okubeera ku mataala ku Hamz Stadium e Nakivubo. Kati olwaleero bano bayanjudde ttiimu y’abazanyi 20 abagenda okubazannyira sizoni eno era nga balwana kulaba nga bava mu kibinja omulundi gw’abwe ogunaaba gusookedde ddala.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *