NIRA etandise okugaba endagamuntu empya

Gladys Namyalo
1 Min Read

Olwaleero ekitongole ekikola ogw’okuwandiisa abantu ki National Identification & Registration Authority oba NIRA kitongozza ekiwendo ky’okugaba endaga muntu eri abewandiisa mu ntekateeka y’okuziza obuggya eyaliwo mu gw’okutaano omwaka guno.Entekateeka eno bagitandikidde ku akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi nga ono akulira ebyamawulire mu NIRA Osborn Mushabe yagyimukwasizza.Atubuulidde nti buli eyewandiisa okufuna endaga muntu kati waddembe okugenda afune eyiyye mu wofiisi za NIRA zonna mu ggwanga nga oluvanyuma entekateeka eno yakutuuka ku miruka.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *