EMPAKA Z’OKUBAKA: Bannantameggwa aba Prisons bakubiddwa mu gya leero

Joseph Tumwesigye
0 Min Read

Banantameggwa ba Liigi y’okubaka aba Uganda Prisons bakubiddwa kkiraabu ya Makindye Weyonje ggoolo 37-36 mu lumu ku nzannya za liigi y’okubaka ezibadde ku Hamz Stadium e Nakivubo. Kyokka ate yo NIC yeyuludde n’ekuba Lifesport ggoolo 60-30 oluvannyuma lw’okuwangulwa Kcca wiikendi eyayita. Bamusaayimuto aba Ugisa nabo bakubye Posta ggoolo 52-30. Liigi y’okubaka yaakuddamu olunaku olwenkya.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *