Amagye gakakasizza nti gegakutte Calvin Tassi amanyibddwa nga Bobi Giant omu kubakuumi b’omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu. Ababadde ne Bobi Giant bagamba nti ono akwatiddwa mu ngeri yabukambye era ngaggyiddwa mu bitundu by’e Ttula mu gombolola y’e Kawempe natwalibwa abasajja ababadde babagalidde emmundu. Omwogezi w’amagye Maj. Gen. Felix Kulayigye agamba nti ono akwatiddwa ku bye’kuusa kukukola Dduyiro w’amagye.