Moses Kalangwa eyawangulwa ku kifo ky’amyuka ssentebe wa NRM mu Buganda leero naye yeekubidde enduulu eri akakiiko ka NRM akassibwawo okukola ku misango egyekuusa ku byokulonda mu kibiina. Kyokka awakanya obuwanguzi bwa Haruna Kasolo gw’agamba nti negyebuli eno akyagaanye okumuwa empapula obululu bwe kwebwagattirwa oba ziyite Tally Sheet. Ye Kasolo atadde Kalangwa ku nninga okuleeta obujulizi obulaga nti akalulu teyakawangula mu mazima na bwenkanya.