RDC aggadde essomero lya Cream Field lwa kulya ssente z’abayizi ba S4 ez’ebigezo

Gladys Namyalo
1 Min Read

RDC wamu n’abatwala ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Mukono baggadde essomero lya Creamfield Vocational School erisangibwa e Nakifuma nga balanga baliddukanya okudda ku ssente z’abayizi ba s4 ez’ebigezo ne bazirya okukakana nga tebawandiisiddwa. Abayizi b’essomero lino aba s4 bakeeredde mu maziga bwe bakitegedde nti tewali kiyinza kukolebwa okubasobozesa okutuula ebigezo nga tebaawandiisibwa. E Mityana nayo eriyo abayizi munaana ab’essomero li Bizmak S.S nabo abatatudde bigezo olwobutawandiisibwa. 

Abakulira amasomero gano bonna baliira ku nsiko.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *