Ab’obulabirizi bwa West Buganda e Masaka bafunye ababuulizi b’enjiri y’obubonero okulaba nga abantu abatawulira, tebalekebwa bbali mu kulyowa emyoyo.Okuvuunula mu bubonero kutandise leero ng’obulabirizi buno West bujaguza olunaku lw’ensi yonna olw’okubulira enjiri er bantu abatawulira.Rev, Deacon, John Anthony Katamba nga yakulira ekitongole ekibublira enjiri mu bulabirizi buno , agamba nti waliwo obwetaavu mukubunyisa enjiri eri abantu abatawulira .