Akakiiko k’eby’okulonda mu NUP katadewo olunaku olw’enjawulo okusobozesa abaafikira mukusunsula kw’ababaka ba palamenti abeegwanyiza okukwatira ekibiina bendera mu kulonda okuggya, nabo okukolwako. Bagamba nti tebaagade kulemesa muntu yena eyawaayo okusaba nga yeegwanyiza ekifo ky’obukaba bwa palamenti kyokka natasunsulwa olw’ensonga ezitali zimu.Leero abava mu bendobendo lya Luwero kwosa Busoga bebasunsuddwa.