Nga wabula olunaku lumu okusunsula abegwanyiza eky’omukulembeze w’eggwanga kutandike, Ab’ekibiina ki UPC tebanasalawo ku ani omutuufu agenda okubakwatira bendera. Oluvannyuma lw’okusisinkana abasatu mu kafubo okuli Jimmy Akena, Othieno Joseph ne Denis Adim Enap, abakakiiko k’ebyokulonda bategezezza nti bajja ku kola okusalawo ku ani agenda okutwala bendera ku lw’ekibiina nga olw’okubiri terunatuuka.