Poliisi ewakanyizza ebibadde bigambibwa nti ewamba bannakibiina ki National Unity Platform bw’emala nebatwala mu mbuga z’amateeka okubavunaana.Ayogerera poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke agambye nti bonna bebazze bakwata na ddala mu kwenyigira mu dduyiro w’ekinnamaggye babakwata mu ngeri enzikakkamu,era egoberera amateeka – bwebamala ne babatwala mu kkooti nga amateeka bwegalambika.Kituuma era atugambye nti baakakwata abantu 10 ku musango guno, kyoka nga bakyalinayo abalala be banoonya.