Ku kyalo Wempere mu gombolola ye Bumanya mu district ye Kaliro eriyo omukyala wa myaka 78 gwetusanze nga avuga bodaboda y’akagaali. Omukyala ono Regina Kulira agamba omulimu guno agwenyumiririzaamu, era nga mwajja ensimbi eziweeredde abaana bonna beyazaala, kko nokulabirira abantube.