Nga ennaku z’omwezi 8 October gyigenda kuwera emyaka 30 bukyanga uganda ebaga ssemateeka nakati kwetambulira mu mwaka 1995.Kiggwana kijjukirwe nti bukyanga uganda efuna bwetwaze mu October 9 1962 ono ye ssemateeka ow’okuna gweyakabana naye.Kati mu kino ekitundu ekisooka ekyemboozi ezikwata ku ssemateeka wa uganda,tugenda kutta ku bigere tutunuulire ebyaliwo mu kuwandiika ssemateeka ow’emirundi enna.