“Ani Yalumba Palamenti?”Ababaka batadde sipiika ku nninga
Abakaba Palamenti abali ku ludda oluvuganya gavumenti batadde sipiika wa palamenti Anita Among ku nninga nga baagala ababuulire engeri ab’ebyokwerinda gyebaayingira palamenti nebakuba ababaka nga abakuba ebisolo mu kaseera palamenti weyateeseza ku bbago ly’etteeka ku mmwanyi . Bano bagamba nti buli kyaakolebwa kyali wabweru w'amateeka agalambika entuula za palamenti, kale nga kyebaagala kwekunyonnyola kwa sipiika ku byaliwo. Kyoka sipiika mu kwanukula abagambye nti byeboogera naye abiwulira gusoopka, kubanga akavuyo wekaatandikira yye yali amaze okufuluma ekisenge omuteesezebwa.