Besigye ne Mukaaku baalabiseeko mu kkooti ya Buganda road
Olwaleero Dr. Col Kiiza Besigye nate alabiseeko mu maaso g'omulamuzi wa kooti ya Buganda Road , okwenyonyolako ku misango gy'okukuma omuliro mu bantu gyeyazza mu june wa 2022 nga ali wamu ne mune Samuel Lubega Mukaaku mu kibuga kampala.Leero bannamateeka babawawabirwa balumaze bakunya muserikale Stephen Oryema eyawandiika alipota erumiriza Besigye ne Mukaaku nga bwebakwata ebizindaalo nebatandika okukunga bannakampala beekalakaase olw'ebbeeyi y'ebintu eyali yekanamye.Okuwulira omusango guno omulamuzi Winnie Nankya akwongezezzaayo okutuusa nga omwezi ogujja ogw’okubiri 11, 2025.