Obukulembeze bwa Amerika obuggya; bannayuganda bagenda kukosebwa batya?
Omukulembeze wa America Donald Trump yalayizibwa ku balaza ya sabiiti eno okutandika emirimu gye oluvanyuma lw’okuwangula ekisanja kye eky’okubiri. Ono olwalayiziddwa n’abeerako enkyukakyuka ez’enjawulo zeyatandikiddeko. Twogeddeko n’omusasi waffe Moses Mukitale awangaalira mu nsi eyo n’atubuulira engeri enkyukakyuka zino gyezigenda okukozaamu bannayuganda abawangaalira mu ggwanga eryo n’abaagala okugendayo.