Ab’obutonde bw'ensi baggadde ekkolero ly’obuveera e Kasangati
Omuwabuzi w’omukulembeze w’egwanga ku nsonga y’obutonde bwe nsi Gilbert Bukenya n’ab’obutonde bw'ensi baggadde ekkolero ly’obuveera olw’okwonoona obutonde bw'ensi e Kasangati mu Wakiso. Bano basangiddwa nga abayiwa kazambi mu mwala.