Ab'e Karujubu mu Masindi baagala eddwaliro lyabwe lisuumusibwe okutuuka ku mutendera gwa HC III
Abatuuze mu division y’e Karujubu e Masindi baagala eddwaliro lyabwe lisuumusibwe okutuuka ku mutendera gwa H/C III Bagamba abantu mu kitundu kyabwe beeyongedde ekiviiriddeko eby’obujjanjabi okukeewa. Muno baagala babongere abasawo n’ebikozesebwa mu bujjanjabi.