Abatuuze bakedde kwerula kkubo lya Namugondi - Lumboka lyebagamba nti lifuuse akattiro
Abatuuze abawangaalira ku luguudo oluva e Busia okudda e Namayingo, olumanyiddwa nga Namugondi - Lumboka road, bakedde okwerula ekkubo lyabwe lyebagamba nti lifuuse akattiro. Ekkubo lino lyakamala emyaka 10 bukyanga ly’onooneka wabula abakulembeze baabwe nga beesulirayo gwannagamba, kwekusalawo balyekolere.