SACCO z’emyoga mu bendobendo ly’e Bugisu zisomeseddwa ku ngeri y’okunwezaamu bizinensi
Ekitongole ki Microfinance Support Centre kibakanye ne kaweefube w’okusomesa Sacco z’emyoga mu bendobendo ly’e Bugisu ku ngeri y’okunwezaamu bizinensi zaazo. Muno mubaddemu okusomesa ku butya bwebawandisaamu bizinensi kwosa n’ebikwata ku nsasula y’emisolo. Ensisinkano eno ebadde mu kibuga Mbale.