Abavubuka e Mpigi bakubiriziddwa okwegatta basobole okuganyulwa mu nteekateeka za gav’t
Abavubuka mu bitundu by’e Mpigi, bakubiriziddwa okwegatta basobole okuganyulwa mu nteekateeka za gav’t ez’enjawulo okusobola okwekulaakulanya. Olwaleero, abakungu okuva mu minisitule y’ekikula ky'abantu basiibye Mpigi nga balambula abantu ab’enjawulo abaganyuddwa mu nteekateeka za gav’t n’okulaba engeri ensimbi ezabaweebwa bwezikozeseddwamu. N’eky’okwesibwa ku omulimu ogumu nakyo bagamba tekijja kusobola kubajja mu bwavu.