Poliisi emenye enyumba z’abatuuze e Nateete lwa kwesenza ku ttaka lyayo
Abatuuze mu Kigagga zooni e Nateete abasobeddwa olw’enyumba zaabwe okumenyebwa poliisi. Bagamba tebaweereddwa kulabulwa kwonna nga balabye baserikale kutandika kusuula bintu byabwe bweru. Poliisi egamba bano besenzawo mu bukyamu.