E Malaba eby’okuteekako nnamba za digito, bitambula kasoobo
Abasuubuzi ba mmotoka eziyingira eggwanga okuyita ku nsalo ye Malaba batandise okwekyawa olw'enteekateeka y'okuwandiisa mmotoka zaabwe nga zissibwako nnamba za digito okutambula akasoobo, kye bagamba nti kibafiirizza obudde n'ensimbi.Ku nsalo eno mmotoka zeeyongedde okwetuuma mu kifo wezirina okuterwaako nnamba za digito.
Minisita omubeezi ow'ebytnambula Fred Byamukama agamba nti bongoedde ku muwendo gw'abantu abakola mu kifo kino okusobola okukendeeza ku mujjuzo gwa mmotoka ezitannakolwako.