Ennongoosereza z’etteeka ly’amagye zitandise okwetegerezebwa
Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka awakanye nti kkooti ensukulumu terina weyalagira nti abantu baabulijjo tebayinza kuvunaanibwa mu kkooti z’amagye wabula yatunulira embeera emisango bwegikwatibwa mu kkooti eno n'egamba nti waliwo ebyaali tebitambula bulungi.
Kiryowa agamba nti ennongoosereza mu kawayiiro ako, zijja kuyambako kkooti eno okwongera okukola obulungi mu bwenkanya.
Bino bye bimu ku bibadde mu kakiiko ka parlamenti akagatte akatandise okwetegerezza ennongooserezza mu bbago ly’etteeka erirungamya emirimu gya UPDF.