Ettemu e Kyengera : Agugulana ne bbulooka w’ettaka atemuddwa
Abatuuze ku kyalo Kigwanya mu town council y’e Kyengera mu district y’e Wakiso bakyali mu ntiisa, oluvannyuma lwa mutuuze munnaabwe okulumbibwa abantu abatanategeerekeka nebamutemula omulambo gwe nebagusuula mu ttanka y’amazzi.
Kirowoozebwa nti Solomon Kyaddondo abadde aliko abantu b’agugulana nabo ku ttaka, nga baludde nga bamwegezaamu okumukolako obulabe.Poliisi etubuulidde nti ensonga eno egitaddeko eriiso wadde nga terina muntu yenna gwe yaakutte.