“Lwaki awozesebwa magye?”; bannamateeka ba Besigye ne Lutale balumbye woofiisi ya Dollo
Ekibinja kya bannamateeka abawolereza Dr. Kizza Besigye ne Obeid Lutale bakedde kugumba ku kitebe kya kkooti ensukkulumu, nga baagala okusisinkana ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo abawe ensala mu musango ssaabawolereza wa gavumenti gwe yajulirayo nga awakanya obuwanguzi bwa Michael Kabaziguruka, ku ky'okuwozesebwa mu kkooti y'amagye nga ate muntu wa bulijjo.Kabaziguruka, omusango gwe yaguwaabira mu kkooti etaputa ssemateeka era n'aguwangula kyokka ssaabawolereza neyeeyongerayo mu kkooti ensukkulumu n'okutuusa olwaleero ekyeeremye okuwa ensala yaayo.Bano babadde bakulembeddwamu Erias Lukwago ne Martha Karua.