"Mmaapu entuufu yiino” aba UBOS basisinkanye abakulu mu Buganda
Kyadaaki ekitongole ekikola ku by’emiwendo mu ggwanga ki Uganda National Bureau of Statistics kisisinkanye abakulu mu bwakabaka bwa Buganda ne kiwakanya ebibadde bisaasaanyizibwa ku mitimbagano nga biraga nga Buganda bweyasanguddwa ku maapu ya Uganda. Amyuka akulira ekitongole kino Vincent Senono abuulidde minisita wa Buganda Ow’ebyamawulire Owekitiibwa Isreal Kazibwe Kitooke nti byonna ebiri ku mutimbagano bitambuzibwa bantu abaagala okuleetawo obutakwatagana wakati w’obwakabaka ne gavumenti.