Ogw’okulonda Kwa Kawempe North: Faridah Nambi aleese abajulizi abalala
Okuwulira obujulizi obwaleetebwa ku musango gw’ebyokulonda ogwawaabwa munna NRM Faridah Nambi ng’awakanya obuwanguzi bwa munna NUP Elias Luyimbaazi nalukoola ku kino ky’omubaka wa kawempe North kuyingidde olunaku olw’okubiri.
Bannamateeka ba Elias Luyimbaazi Nalukoola olwaleero Salido abajulizi abalala bebakunyiza ku bujulizi bwabwe bwebaawa kkoti ng’olunaku olw’enky’enkya ewangula akalulu kano Elias Luyimbaazi nalukoola lwasuubirwa okubuuzibwa oludda oluwaabi mu musango guno.