Omulimo gw’okwekebejja bbaasi za kkampuni ya YY gutandise
Omulimo gw’okwekebejja bbaasi za kkampuni ya YY ez'akenyigira mu bubenje obw'emirundi ebiri mumwezi gumu gutandise olwaleero . Baasi eziwera 18 leero zezeekebejjeddwa era nga tutegeezeddwa nti ezinaaba zitatuukana na mutindo sizaakukkirizibwa kusaabaza bantu.