Gav't ekakasizza nti yaakusigala ng'evujjirira kaweefube w'okulwanyisa akawuka ka mukenenya
Gavumenti ng'eyita mu kakiiko ka Uganda AIDS Commission egumizza bannayuganda nti yaakusigala ng'evujjirira kaweefube w'okulwanyisa akawuka ka mukenenya yadde nga gye buvuddeko Amerika yayimiriza obuyambi bwayo eri amawanga agendajwulo omuli ne Uganda Wabaddewo obweraliikirivu nti embeera yandisajjuka olw'ensimbi okwesala ate nga waliwo abantu abongodde okufuna akawuka kano Omwaka oguwedde abantu 38,000 be baafuna akawuka ka mukenenya