Omulambo gwa Canon Jimmy Musimbi eyafiira mu kabenje ka bbaasi ya YY gukwasiddwa aba ffamire ye
Kyaddaaki aba ffamire ya Canon Jimmy Musimbi omu ku bantu abaafiira mu kabenje ka bbaasi ya YY eyakwata omuliro gyebuvuddeko bamaze ne bazuula omulambo gwe. Omulambo gwa Musimbi gwabadde gumu kwegyo esatu egyekebejjeddwa Poliisi okusobola okuzuula abenganda. Ono kati wakuziikibwa olunaku lwe'nkya mu disitulikiti ye Manafwa.