Abaddukanya ekizinga ky'e Ngamba baakuzimba ebisulo by’abalambuzi awalala
Olw’okubooga kw’ennyanja Nalubaale, kyongedde okufuuka ekizibu okusuza abalambuzi ku kizinga ky’e ngamba awakuumirwa amazike. Abalambuzi mu kiseera kino basuzibwa mu bifo ebiri ku bizinga ebiriraanyewo wabula nga balina enteekateeka y’okwezimbira ebisulo byabwe mu kifo kyebatannayanguza. Ekizibu ky’entambula etuuka ku kizinga kino nakyo kinogeddwa eddagala nga Omusasi waffe Ivan Walunyoro bwannyonyola.